Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde nti 2021, Uganda erina okufuna omukulembeze w’eggwanga omuggya. Sabiti ewedde, Bobi Wine bwe yabadde ku CNN, yalangiridde nti alina okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni. Mu kiro ekikeseza olunaku […]
Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde nti 2021, Uganda erina okufuna omukulembeze w’eggwanga omuggya.
Sabiti ewedde, Bobi Wine bwe yabadde ku CNN, yalangiridde nti alina okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.
Mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero ku Lwokuna, Bobi Wine abadde ku Voice of Africa eya America era agambye nti bannayuganda bamalirivu okukyusa obuyinza kuba bakooye embeera embi.
Agamba nti okuva omwaka oguwedde ogwa 2018, abadde akubirizza abantu okwewandiisa okufuna Densite, okusobola okwetaba mu kulonda n’okukyusa obuyinza.
Bobi Wine era agambye nti 2021, Museveni alina okuva mu buyinza kuba abavubuka bangi nnyo bamaliridde okuvaayo mu bungi okulonda, okukuuma akalulu n’okuwangula obuyinza.
Mu kwogera kwe, Bobi Wine anokoddeyo ensonga ezenjawulo lwaki y’omu ku bannayuganda abelemeddeko okusindikiriza Museveni, era agambye nti embeera embi omuli okutyoboola eddembe ly’obuntu, obwavu, abavubuka tebalina mirimu n’ebirala, babikooye mu ggwanga lyabwe.