Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku bigenda mu maaso mu ggwanga, abamu ku bannansi okuwakanya ekya Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi okutongoza empaka za ‘Miss Curvy’ ku Lwokubiri ku Mestil Hotel e Nsambya. Empaka za Miss Curvy zigenda kuwa omukisa abawala abanene okuvuganya […]
Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku bigenda mu maaso mu ggwanga, abamu ku bannansi okuwakanya ekya Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi okutongoza empaka za ‘Miss Curvy’ ku Lwokubiri ku Mestil Hotel e Nsambya.
Empaka za Miss Curvy zigenda kuwa omukisa abawala abanene okuvuganya era omuwanguzi wakulangirirwa mu Gwomukaaga gwa 2019.
Wabula Museveni bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu State House Entebbe, agambye nti ekirowoozo kya ‘Miss Curvy’ tekyavudde mu kabinenti era yewunyiza omu ku baali abasirikale, Anni Mungoma, okulemberamu entekateeka eyo.
Mungeri y’emu agambye nti, abawala okuvaayo ne pulogulamu ya Miss Curvy tebalina musango kyokka abantu abakulu mu ggwanga balina okubatuuza okubulirirwa okusinga abantu abenjawulo okubavumirira.
Museveni agamba nti waliwo abantu abalina emitwe emikalu, abavuddeyo okuwakanya entekateeka ya Miss Curvy nga tebanaba kunoonyereza wadde okwebuuza ku bawala abakitandise.

Ku nsonga ya Quin Abenakyo okuwangula eky’omuwala asinga obulungu mu Africa, Museveni agambye nti kyongedde okubikula abantu amaaso n’okuyiiya era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki Miss Curvy yatongozeddwa mu Uganda.
America yeyasooka okutegeka empaka za Miss Curvy mu nsi yonna era mu kiseera kino zitegekebwa mawanga agenjawulo omuli Kenya, Nigeria, South Africa, France, Namibia, Zimbabwe, India n’amawanga amalala.