Bya Nalule Aminah Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine enkya ya leero, akyaliddeko abatuuze b’omu Lusanja ku lw’e Gayaza abasengulwa omugagga Medard Kiconco mu ngeri emenya amateeka omwaka oguwedde ogwa 2018. Bobi Wine awerekeddwako ababaka banne omuli Latif Sebaggala owe Kawempe North, Francis Zaake ow’e Mityana Munisipaali n’abalala. […]
Bya Nalule Aminah
Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine enkya ya leero, akyaliddeko abatuuze b’omu Lusanja ku lw’e Gayaza abasengulwa omugagga Medard Kiconco mu ngeri emenya amateeka omwaka oguwedde ogwa 2018.
Bobi Wine awerekeddwako ababaka banne omuli Latif Sebaggala owe Kawempe North, Francis Zaake ow’e Mityana Munisipaali n’abalala.
Olunnaku olwaleero, abatuuze abatwalidde ebintu ebyenjawulo omuli amabaati 100, agawereddwayo omubaka Ibrahim Kasozi owe Makindye East, Omubaka Zzaake awaddeyo akakadde kamu, Ssebagala asuubizza obusawo bwa ssementi 30 n’ebintu ebirala, okusobola okuzaawo amanyumba agamenyebwa.
Mu kwogera kwe, Bobi Wine asuubizza okwongera okusakira abatuuze, okuddamu okweyagalira mu kitundu kyabwe.
Embeera eri mu Lusanja mu kiseera kino