SIRI MUYEMBE! Eddy Kenzo ali mu buzibu, ebigambo bya Rema bitukiridde, bubuno obukakafu, balina obugambo bw’omukwano

©GALAXY

Mu Uganda, Rema Namakula y’omu ku bayimbi abakyala abalina abawagizi mu myaka egyenjawulo omuli abasajja n’abakyala, abato n’abakulu. Rema alina omwana omu okuva eri bba Eddy Kenzo kyokka ku nkomerero y’omwaka oguwedde, amawulire gayitingana nti yali afunya olubuto wadde yabiwakanya. Mu kiseera kino Rema y’omu ku bayimbi abakyala abasinga okuyimba ku mikolo omuli embaga n’okwanjula […]


Mu Uganda, Rema Namakula y’omu ku bayimbi abakyala abalina abawagizi mu myaka egyenjawulo omuli abasajja n’abakyala, abato n’abakulu.

Rema alina omwana omu okuva eri bba Eddy Kenzo kyokka ku nkomerero y’omwaka oguwedde, amawulire gayitingana nti yali afunya olubuto wadde yabiwakanya.

Mu kiseera kino Rema y’omu ku bayimbi abakyala abasinga okuyimba ku mikolo omuli embaga n’okwanjula era kimwongedde ettutumu n’okufuna abawagizi.

Mu mbeera eyo, abawagizi abenjawulo ku mukutu ogwa Face Book, bongedde okuwaana n’okususuuta Rema nga bakozesa ebigambo ebyenjawulo.

Abamu bagamba nti Rema yasinga obulungi mu Uganda, abamu bagamba nti bba Kenzo alya bulungi kuba yafuna omukyala omulungi, abalala bagamba nti Rema anyumira fiitingi.

Abamu ku Rema bamwegombako obunya ku matama era ebigambo byabwe bw’osaanga omusajja ow’ebubba ayinza okulemesa omukyala okuddamu okuteeka ebifaananyi ku mutimbagano gwonna.

Kinnajjukirwa nti mu luyimba lwa Rema ‘Siri Muyembe’, yategeeza nti waliwo abasajja abamukwana nga bagala omukwano wabula ebigambo by’abantu ku mukutu ogwa Face Book, biraga nti bambi alina ensonga ate kituufu bamukwana kuba mulimu abeyambisa obukodyo obwenjawulo okusaba Rema enamba y’essimu.

Ebigambo by’abantu ku Rema