Poliisi y’e Mukono ekutte omusajja ku by’okusobya ku baana abato nga bonna baaluganda. Shadrack Watelo myaka 20, omutuuze ku kyalo Lusera mu ggoombolola Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono, yakwatiddwa Poliisi ku by’okudda ku baana ba neyiba okuli ow’emyaka 3 ne 13 nabakozesa emirundi egyenjawulo. Okusinzira ku nnyina w’abaana, omu ku batuuze yasangirizza Watelo mu nsiko […]
Poliisi y’e Mukono ekutte omusajja ku by’okusobya ku baana abato nga bonna baaluganda.
Shadrack Watelo myaka 20, omutuuze ku kyalo Lusera mu ggoombolola Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono, yakwatiddwa Poliisi ku by’okudda ku baana ba neyiba okuli ow’emyaka 3 ne 13 nabakozesa emirundi egyenjawulo.
Okusinzira ku nnyina w’abaana, omu ku batuuze yasangirizza Watelo mu nsiko kwekutegeeza ku batuuze okuvaayo okuyamba abaana kyokka Watelo yasobodde okudduuka, ekyawaliriza Poliisi okumunoonya nakwatibwa.
Maama agamba nti Watelo abadde akozesa omukisa ng’ageenze mu ddwaaliro okudda ku baana be okubatunuza mu mbuga ya sitaani emirundi egyenjawulo.
Ate Agnes Lule omu ku batuuze, avumiridde eky’omusajja omukulu okudda ku baana abato okubasobya era asabye ekitongole ekiramuzi okuwa Watelo ekibonerezo ekigwanidde.
Lule agamba nti Watelo balina okumuggya mu batuuze okusindiika eky’okuyiga eri abatuuze abalala.
Poliisi y’e Mukono, etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.