BAMBI! Herbert Shonga ali mu maziga, eby’obugagga byonna bitwaliddwa

©GALAXY

Herbert Shonga omu ku batandisi b’ekibiina kya Obsessions era omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala ebintu byongedde okumwonoonekera era mu kiseera kino ali mu maziga. Amawulire getufunye, galaga nti Shonga azzeemu okutambulira ku bodaboda kuba emmotoka ze zonna zatwaliddwa abawozi b’ensimbi (money lenders). Kigambibwa abadde abanjibwa obukadde bw’ensimbi ng’alemeddwa okusasula era y’emu ku […]


Herbert Shonga omu ku batandisi b’ekibiina kya Obsessions era omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala ebintu byongedde okumwonoonekera era mu kiseera kino ali mu maziga.

Amawulire getufunye, galaga nti Shonga azzeemu okutambulira ku bodaboda kuba emmotoka ze zonna zatwaliddwa abawozi b’ensimbi (money lenders).

Kigambibwa abadde abanjibwa obukadde bw’ensimbi ng’alemeddwa okusasula era y’emu ku nsonga lwaki mmotoka ezebbeeyi zasikiddwa ba money lenders.

Abamu ku mikwano gya Shonga bagamba nti yagwamu kuba yali ayawukanye n’omukyala Dorothy Shonga eyali amuwa ku ssente kyokka wadde badingana, takyamuwa ssente.