LABA OMUKWANO! Abantu balaze Bobi Wine okwagala ku mazaalibwa ge, bamusuubiza obwa Pulezidenti mu 2021

©GALAXY

Bannayuganda balaze omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine omukwano bw’abadde ajjaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 37. Bobi Wine yazaalibwa nga 12, Febwali, 1982 era olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, yajjaguza okuweza emyaka 37. Mu kujjaguza, yasobodde okuwa obuyambi abantu abenjawulo omuli ku ddwaaliro lya Kasangati Health Center III, Mapeera Bakateyamba […]


Bannayuganda balaze omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine omukwano bw’abadde ajjaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 37.

Bobi Wine yazaalibwa nga 12, Febwali, 1982 era olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, yajjaguza okuweza emyaka 37.
Mu kujjaguza, yasobodde okuwa obuyambi abantu abenjawulo omuli ku ddwaaliro lya Kasangati Health Center III, Mapeera Bakateyamba home e Nalukolongo, Sanyu Babies Home e Mengo n’ebitundu ebirala.

Ku mukutu ogwa Face Book, abantu basanyukiddeko Bobi Wine okuweza emyaka 37 era bangi basuubiza obuwagizi mu 2021 singa yesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga.