OMWANA AKIMUGAMBYE! Platnumz ali mu maziga, Tanasha Donna amubulidde amazima ku laavu yaabwe, Zari ayinza okweddiza amatwale

©GALAXY

Omuwala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch ayogedde amazima ku mukwano gwe n’omuyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz. Okuva omwaka oguwedde, Platnumz yafuna Tanasha okufuna omukyala kuba alina okukyusa woyiro n’okumwerabiza Zari Hassan. Mungeri y’emu Platnumz y’omu ku bayimbi abalina ssente mu ggwanga erya Tanzania ne East Africa era yalina okunoonya omukyala ayinza okulya ku ssente ze. […]


Omuwala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch ayogedde amazima ku mukwano gwe n’omuyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz.

Okuva omwaka oguwedde, Platnumz yafuna Tanasha okufuna omukyala kuba alina okukyusa woyiro n’okumwerabiza Zari Hassan.

Mungeri y’emu Platnumz y’omu ku bayimbi abalina ssente mu ggwanga erya Tanzania ne East Africa era yalina okunoonya omukyala ayinza okulya ku ssente ze.

Ng’ensi yonna erindiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 14, Febwali, okujjaguza olunnaku lwa baagalana, Tanasha agambye nti wadde ali mu laavu ne Platnumz, alina okutya ku bulamu bwe, “I feel insecure dating Diamond Platnumz“.

Wadde alemeddwa okulambulula ku nsonga eyo, abamu ku bantu bagambye nti Tanasha alina okutya nti Platnumz ayinza okumusiiga obulwadde kuba asukkiridde okwagala abakyala ebenjawulo oba ayinza okuddingana n’abakyala omuli Zari Hassan ne Hamisa Mobeto.