Omuwala Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya, akakasiza omukwano gwe eri bba Omutanzaniya omuyimbi Diamond Platnumz. Olunnaku olw’eggulo ku lunnaku lwa baagalana, Platnumz yasindise mikwano gye mu ggwanga erya Kenya, okutwalira Tanasha ebirabo era yasangiddwa mu situdiyo ku laadiyo gyakolera. Tanasha bamutwalidde ebimuli, omwenge n’ebintu ebirala era yasanyuse nnyo. Mu mbeera eyo, asobodde […]
Omuwala Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya, akakasiza omukwano gwe eri bba Omutanzaniya omuyimbi Diamond Platnumz.
Olunnaku olw’eggulo ku lunnaku lwa baagalana, Platnumz yasindise mikwano gye mu ggwanga erya Kenya, okutwalira Tanasha ebirabo era yasangiddwa mu situdiyo ku laadiyo gyakolera.
Tanasha bamutwalidde ebimuli, omwenge n’ebintu ebirala era yasanyuse nnyo.
Mu mbeera eyo, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza Platnumz.
Tanasha agambye nti okwagala Platnumz kimufudde omukyala asinga omukisa mu nsi yonna era okwagala kw’alina tayinza kunyonyola mu bulamu bwe, “Thank you my love. I’m the luckiest woman in the world to have you…. Words can’t express how I feel right now“.
https://www.instagram.com/p/Bt363VmBDcV/