ASWADDE NNYO! Aba People Power batabukidde Frank Gashumba mu lwatu lwa Dr Kizza Besigye, bamulangidde ebigambo ebiswaza

©GALAXY

Abantu abenjawulo abateeberezebwa okuwagira ekisinde kya People Power n’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine batabukidde akulira ekibiina kya Ssisimuka Uganda Frank Gashumba ku nsonga za Dr Kizza Besigye. Gashumba enkya ya leero, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okugamba nti, “Abasirusiru abatumbaavu bali mu kwonoona ekintu BESIGYE kyakwatiridde […]


Abantu abenjawulo abateeberezebwa okuwagira ekisinde kya People Power n’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine batabukidde akulira ekibiina kya Ssisimuka Uganda Frank Gashumba ku nsonga za Dr Kizza Besigye.

Gashumba enkya ya leero, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okugamba nti, “Abasirusiru abatumbaavu bali mu kwonoona ekintu BESIGYE kyakwatiridde okuva 2001. Kitalo!!!!!!!!!”.

Ebigambo bya Gashumba, bangi ku bantu ku mukutu ogwa Face Book bamutabukidde mu ngeri ezenjawulo era bangi bagambye nti Gashumba musajja wankwe nnyo.

Gashumba agamba nti bangi ku bannayuganda balina akawunti z’emitimbagano gya yintanenti omuli Face Book era buli muntu alina eddembe okuwandiika kyalowooza nti kituufu.

Wadde abantu bangi nnyo banyumirwa ebigambo bye, olunnaku olwaleero bamutabukidde era bamulabudde okukomya okubasibako Dr Kizza Besigye kuba alemeddwa okukwata obuyinza era 2021 balina okuwagira omuntu omulala era muvubuka munaabwe.
Dr Besigye myaka 62 yaakavuganya ku bwa Pulezidenti emirundi 4 omuli 2001, 2006, 2011 ne 2016 mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC).

Kigambibwa 2021 alina okuddamu okwesimbawo omulundi ogw’okutaano ku bukulembeze bw’eggwanga.
Mu mbeera eyo, Gashumba agamba nti Dr Besigye awaddeyo obulamu bwe okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga era abantu balina okumuwa ekitiibwa kuba tewali muntu yenna mu Uganda awaddeyo obulamu bwe nga Besigye.

Abantu batabukidde Gashumba