MUSWADDE! Mukomye obulimba, MTN evuddeyo ku nsonga za ISO okulumbagana ekitebe e Kololo, eleese bwiino yenna

©GALAXY

Kkampuni ya MTN evuddeyo kubigambibwa nti abasirikale mu kitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO kyazinzeeko ekitebe kyabwe e Kololo nga baliko bye banoonyereza. Okusinzira ku bakulu mu Kampuni ya MTN, amawulire agafulumidde mu lupapula lwa New Vision nga 17, February, 2019 nti offiisi za MTN e Kololo aba ISO bazisazeeko ku lunnaku olwokutaano nga 15, […]


Kkampuni ya MTN evuddeyo kubigambibwa nti abasirikale mu kitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO kyazinzeeko ekitebe kyabwe e Kololo nga baliko bye banoonyereza.

Okusinzira ku bakulu mu Kampuni ya MTN, amawulire agafulumidde mu lupapula lwa New Vision nga 17, February, 2019 nti offiisi za MTN e Kololo aba ISO bazisazeeko ku lunnaku olwokutaano nga 15, February, 2019, amawulire ago makyamu nnyo.

MTN era esabye aba New Vision okuvaayo mu lwatu okumenyawo ebigambo byabwe kuba bigendereddwamu okutatana kampuni yaabwe.

Mu ngeri y’emu MTN egambye nti bbo balina okutambulira mu mateeka mu kutambuza emirimu gyabwe era bagumizza bakasitoma bonna obuwereza obulungi.

Kinnajjukirwa nti ku lunnaku olwokuna, abadde akulira MTN Wim Vanhelleputte yatikiddwa ku nnyonyi okumuzaayo mu ggwanga erya Belgium kubigambibwa nti abadde akulembeddemu okusanyalaza ebyokwerinda mu ggwanga.

Ekiwandiiko kya MTN