Akulira ebyobulamu n’obujjanjabi mu kitongole ekya Poliisi, Dr. Moses Byaruhanga akulembeddemu abasawo n’abasirikale okuziikula ebisigalira by’omwana Tuyisenge Provia myaka 6, eyattibwa kitaawe naziikibwa ku kyalo Kyakayanja LCI mu ggoombolola y’e Kiganda mu disitulikiti y’e Kasanda. Tuyisenge yattibwa kitaawe Noheri Manasseh myaka 33 omutuuze ku kyalo Kyakayanja LCI mu ggoombolola y’e Kiganda mu April, 2018. Taata […]
Akulira ebyobulamu n’obujjanjabi mu kitongole ekya Poliisi, Dr. Moses Byaruhanga akulembeddemu abasawo n’abasirikale okuziikula ebisigalira by’omwana Tuyisenge Provia myaka 6, eyattibwa kitaawe naziikibwa ku kyalo Kyakayanja LCI mu ggoombolola y’e Kiganda mu disitulikiti y’e Kasanda.
Tuyisenge yattibwa kitaawe Noheri Manasseh myaka 33 omutuuze ku kyalo Kyakayanja LCI mu ggoombolola y’e Kiganda mu April, 2018.
Taata Manasseh yakwatibwa nasingisibwa ogw’ogezaako okutta omuntu, nasindikibwa mu kkomera emyaka 10.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala ASP Nobert Ochom agambye nti ssemaka Manasseh asobodde okuyamba Poliisi okubalaga weyaziika omwana we era omusango gwe gulina okukyuka, avunaanibwe ogw’obutemu.