Omuyimbi Pia Pounds alambuludde lwaki bangi ku bannayuganda balowooza nti Eddy Kenzo yali amuwadde ku bintu okutabaala mu nsonga z’omu kisenge. Okuva 2017, bamu ku bannayuganda babadde bagamba nti Pia Pounds mukyala wa Kenzo era mbu avuganya Rema Namakula ku waaya ya Kenzo. Olunnaku olw’eggulo, Pia Pounds bwe yabadde ku NBS TV mu pulogulamu ‘After […]
Omuyimbi Pia Pounds alambuludde lwaki bangi ku bannayuganda balowooza nti Eddy Kenzo yali amuwadde ku bintu okutabaala mu nsonga z’omu kisenge.
Okuva 2017, bamu ku bannayuganda babadde bagamba nti Pia Pounds mukyala wa Kenzo era mbu avuganya Rema Namakula ku waaya ya Kenzo.

Olunnaku olw’eggulo, Pia Pounds bwe yabadde ku NBS TV mu pulogulamu ‘After 5’ yabuziddwa oba mu bulamu bwe yali abaddeko mu mukwano ne Kenzo.
Pia Pounds yatunudde mu kamera era yagambye nti “NO” wabula yawadde emu ku nsonga lwaki abamu ku bantu balina ekirowoozo nti Kenzo yaliko bbaawe.

“Mu Uganda bangi ku bakyala batutwalanga nga Sex Objects era abamu balowooza nti Kenzo okunsembeza mu kibiina kye ekya Big Talent, yasooka kunsaba mukwano“, Pia Pounds bwatyo bweyanyonyodde.
Mungeri y’emu yagambye nti Kenzo yamusanga mu situdiyo ne yegoomba engeri gy’ayimba, kwekumusaba okuggya mu kibiina kye, okumuyambako okutumbula talenti ye.
Pia Pounds era yagambye nti bukya atandiika kuyimba n’okumwogerera ebigambo nti ayagala Kenzo, tanafuna mukisa okusisinkana Rema okwogera ku nsonga ezo.