BITABUSE! Balaam ayingidde mu nsonga za Mukyala SK Mbuga, Vivienne, agenze mu kkooti

©GALAXY

Ssaabavvulu Balaam Baruhagare avuddeyo ku nsonga z’omukyala Angella Vivienne Chebet eyakwatibwa sabiti ewedde ku Lwokuna ku misango gy’okufera ssente. Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango, Vincent Ssekate agamba nti, Vivian bamukwata ku misango gy’okutambuza ssente mu bumenyi bw’amateeka (Money Laundering) era omusango guno yaguzza n’abantu abalala babiri okuli bba Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga […]


Ssaabavvulu Balaam Baruhagare avuddeyo ku nsonga z’omukyala Angella Vivienne Chebet eyakwatibwa sabiti ewedde ku Lwokuna ku misango gy’okufera ssente.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango, Vincent Ssekate agamba nti, Vivian bamukwata ku misango gy’okutambuza ssente mu bumenyi bw’amateeka (Money Laundering) era omusango guno yaguzza n’abantu abalala babiri okuli bba Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga ne Muhammad Mbabali atannakwatibwa,

Ssekate agamba nti okukwata Vivienne, kyaddiridde kkampuni ya bannamateeka eya Boman’s Law Firm okugenda ku poliisi e Katwe n’eggulawo omusango ku fayiro GEF 133/2018 nga bavunaana SK Mbuga, Vivian Angella Chebeti ne Mohammad Mbabali okwekobaana ne bafera omuzungu Stein Heinson ssente eziri mu buwumbi 23.

Kigambibwa nti okuva lwe baafunza Mbuga e Dubai, Omuzungu yasindika ttiimu mu Uganda ebadde ekolagana ne poliisi mu kuyigga Vivian eyali yagattibwako erya Jalia oluvannyuma lw’okuwoowebwa Mbuga mu March 2017.

Mungeri y’emu Ssekate agamba nti aba Boman’s Law Firm, okutwala omusango ku poliisi, baali bakolera ku biragiro bya kkampuni y’e Sweden eya Einor Matson AB, Group of Companies. Omuzungu Stein Heinson gwe baafera, ye dayirekita w’eby’ensimbi mu kkampuni eno.

Balaam Baruhagare
Balaam Baruhagare

Wabula omugagga Balaam agamba nti kimenya amateeka Poliisi okukuumira omukyala Vivienne mu kaduukulu ka poliisi.

Balaam agamba nti Vivienne bw’aba alina omusango, bamutwale mu kkooti kuba okumukumira mu kaduukulu ka poliisi kimenya amateeka.

Mungeri y’emu aduukidde mu kkooti okusaba Vivienne ayimbulwe kuba Poliisi eremeddwa okumutwala mu kkooti ku misango egyamukwasa.

Mu kiseera kino bba wa Vivienne, SK Mbuga bamututte mu ggwanga erya Denmark ku misango gy”okufera ssente.