DDOGO OBA! Leila Kayondo amaliridde okuggya SK Mbuga mu kkomera, omusawo amusindise akunamire ebinyonyi, abiraze empale enkadde

©GALAXY

Abantu bangi basobeddwa era bakyebuuza ekisindikiriza omuyimbi Leila Kayondo okunamira ebinyonyi ebitalina musango. Kigambibwa Leila y’omu ku bakyala abaali bawaddeko omugagga SK Mbuga vuvuzera okufukirira era mbu mu kiseera ekyo, yafuna ebintu ebyenjawulo omuli emmotooka. Mu kiseera kino, SK Mbuga ali mu kkomera mu ggwanga erya Denmark ku misango gy’okufera omuzungu Stein Heinson obuwumbi bwa […]


Abantu bangi basobeddwa era bakyebuuza ekisindikiriza omuyimbi Leila Kayondo okunamira ebinyonyi ebitalina musango.

Kigambibwa Leila y’omu ku bakyala abaali bawaddeko omugagga SK Mbuga vuvuzera okufukirira era mbu mu kiseera ekyo, yafuna ebintu ebyenjawulo omuli emmotooka.

Mu kiseera kino, SK Mbuga ali mu kkomera mu ggwanga erya Denmark ku misango gy’okufera omuzungu Stein Heinson obuwumbi bwa ssente 23 era y’emu ku nsonga lwaki ne mukyala wa Mbuga Angella Vivienne Chebet yakwattiddwa.

Mu mbeera eyo, Leila ali mu ggwanga erya South Africa mu kibuga Johannesburg okulya ku ssente kyokka bangi ku bagoberezi be ku mukutu ogwa Instagram bewunyiza ekimutanudde okunamira ebinyonyi.

Abamu bagambye nti kirabika yasindikiddwa omusawo w’ekinnansi okuloga, okunamira ebinyonyi, okukyusa obwongo bw’abalamuzi ne Poliisi, muganzi we SK Mbuga okuyimbulwa.

Abantu balina ebirowoozo ebyenjawulo ku vidiyo ya Leila Kayondo