Abantu bangi nnyo bakyebuuza ekyawalirizza omusirikale mu kitongole ky’obwanannyini ekikuumi ekya 1980 Kabalega War Veteran’s Association Security Group, Amos Muhebwa okukuba omuyimbi Gravity Omutujju amasasi ku Lwokusatu ekkiro ku ku LK Petrol Station e Bukuya mu disitulikiti y’e Kassanda. Gravity yabadde alina ekivvulu mu katawuni k’e Lwebitute kwekukyama ku LK Petrol Station okunywa amafuta n’okulinda […]
Abantu bangi nnyo bakyebuuza ekyawalirizza omusirikale mu kitongole ky’obwanannyini ekikuumi ekya 1980 Kabalega War Veteran’s Association Security Group, Amos Muhebwa okukuba omuyimbi Gravity Omutujju amasasi ku Lwokusatu ekkiro ku ku LK Petrol Station e Bukuya mu disitulikiti y’e Kassanda.
Gravity yabadde alina ekivvulu mu katawuni k’e Lwebitute kwekukyama ku LK Petrol Station okunywa amafuta n’okulinda mikwano gye, okumwongerayo mu kifo, awabadde ekivvulu.
Omusirikale Amos Muhebwa weyakubidde Gravity Omutujju amasasi abbiri (2), erimu lyakutte mu kabutobuto, natwalibwa mu kiliniki ya Blue Star Clinic e Bukuya okufuna obujanjabi obusokerwako gye yagiddwa n’atwalibwa mu ddwaaliro e Rubaga.
Wabula okusinzira ku batuuze aberabiddeko n’agaabwe, ensonga ya Gravity Omutujju okukubwa omusirikale Muhebwa yabaddemu ensonga y’omukazi.
Bagamba omusirikale yabadde n’omuwala ali wakati w’emyaka 20-25 era kigambibwa yabadde muganzi we.
Mu bigambo bya Gravity Omutujju agamba nti omusirikale Muhebwa yamukubye oluvanyuma lw’okumutegeeza nti “nkulageko” mu maaso g’omuwala.
Mungeri y’emu Gravity agamba nti omuwala yasobodde okutegeeza omusirikale Muhebwa nti, “oyo Gravity omuyimbi lwaki tomwesonyiwa, mwesonyiwe muleke”.
Abatuuze bagamba nti omu ku bantu ababadde ne Gravity, yalabiddwako n’omuwala era y’emu ku nsonga lwaki omusirikale Muhebwa yavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okuteebereza nti bagala kukwana mukyala we.
Kigambibwa Muhebwa yakubye Gravity okusindiika obubaka eri omuwala nti tewali muntu yenna alina kwogera naye.
Mu kiseera kino omusirikale Muhebwa ali ku CPS e Kassanda.