BAMBI! Omubaka Zaake azzeemu nakwatibwa Poliisi amangu ddala ng’ayimbuddwa kkooti, atwaliddwa ku misango gy’okulya mu nsi olukwe

©GALAXY

Omubaka w’e Mityana Francis Zaake Butebi azzeemu nakwatibwa amangu ddala ng’ayimbuddwa omulamuzi wa kkooti esookerwako mu bitundu bya Arua. Zaake yakwattiddwa abasajja ababadde mu ngoye eza leeya akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu bitundu bya Clock Tower mu Kampala bwe yabadde adda mu makaage Kigambibwa Zaake yalemwa okweyanjula ku Poliisi nga 5, December, 2018, bannamateeka be ne […]


Omubaka w’e Mityana Francis Zaake Butebi azzeemu nakwatibwa amangu ddala ng’ayimbuddwa omulamuzi wa kkooti esookerwako mu bitundu bya Arua.

Zaake yakwattiddwa abasajja ababadde mu ngoye eza leeya akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu bitundu bya Clock Tower mu Kampala bwe yabadde adda mu makaage

Kigambibwa Zaake yalemwa okweyanjula ku Poliisi nga 5, December, 2018, bannamateeka be ne bategeeza nti abadde alina okuddayo mu ddwaaliro Lubaga, okumwekebejja n’okutekateeka okuddayo mu ggwanga erya Buyindi, okuddamu okufuna obujanjabi.

Enkya ya leero, bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Arua Daniel Lubowa, aguddwawo omusango gw’okutoloka mu kaduukulu ka poliisi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Zaake bwe yali mu bitundu bya Arua, omwaka oguwedde ogwa 2018 mu August, bwe yali akwattiddwa yazirika, natwalibwa mu ddwaaliro ekkulu erya Arua, gye yadduka okudda mu Kampala okufuna obujanjabi.

Omulamuzi Lubowa amukiriza okweyimirirwa ku bukadde bwa ssente 50 ezitali zabuliwo ne banne abamweyimiridde ssentebbe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Arua Nesmah Ocokoru ne Kansala Bazaar Ward Isaac Akile obukadde bwa ssente 50 (buli omu) ezitali zabuliwo.

Oluvudde mu kkooti, azzeemu nakwatibwa Poliisi era atwaliddwa mu bitundu bye Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, ye ne banne Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine n’abalala gye bali mu kwewozaako ku bigambibwa nti baakuba emmotooka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amayinja endabirwamu neyiika, nga 13, August, 2018 mu kiseera ky’okunoonya akalulu ka Monisipaali ya Arua oluvanyuma lwa munna NRM Ibrahim Abiriga Okuttibwa.