Omukyala Shanita Namuyimbwa amanyikiddwa nga Bad Black ayitiddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli okwewozaako ku misango egyamuguddwako. Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate agambye nti Bad Black abadde asukkiridde okweyambisa emitimbagano gya yintanenti okusasaanya obuseegu. Ssekate agamba nti Bad Black yaguddwako omusango “Offensive Communication” kuba abadde yeyambisa vidiyo […]
Omukyala Shanita Namuyimbwa amanyikiddwa nga Bad Black ayitiddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli okwewozaako ku misango egyamuguddwako.
Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate agambye nti Bad Black abadde asukkiridde okweyambisa emitimbagano gya yintanenti okusasaanya obuseegu.

Ssekate agamba nti Bad Black yaguddwako omusango “Offensive Communication” kuba abadde yeyambisa vidiyo ku mitimbagano okuwemula, okuvuma abantu era Poliisi esobodde okufuna obujjulizi bwonna okuva mu vidiyo ze.
Agamba nti Bad Black alina okweyanjula ku Poliisi obutasukka 27, Febwali, 2019 kuba yategeezeddwa era singa agaana okweyanjula ku Poliisi, wakunonyezebwa akwatibwe avunaanibwe mu mbuga z’amateeka.