Omuwala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch amaliridde okulwanyisa abawala bonna abayinza okwesembereza bba Diamond Platnumz, omuyimbi okuva mu ggwanga erya Tanzania. Platnumz y’omu ku basajja abatayisa sikaati kuba ayagadde abakyala abenjawulo mu mawanga agenjawulo. Wabula Tanasha Donna avudde mu mbeera, Platnumz bw’abadde ku ssimu mu kiseera ky’okulya emmere era olw’ebbuba, abadde asemberedde okukaaba. Tanasha […]
Omuwala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch amaliridde okulwanyisa abawala bonna abayinza okwesembereza bba Diamond Platnumz, omuyimbi okuva mu ggwanga erya Tanzania.
Platnumz y’omu ku basajja abatayisa sikaati kuba ayagadde abakyala abenjawulo mu mawanga agenjawulo.
Wabula Tanasha Donna avudde mu mbeera, Platnumz bw’abadde ku ssimu mu kiseera ky’okulya emmere era olw’ebbuba, abadde asemberedde okukaaba.

Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga embeera gye yabadde mu kiseera nga Platnumz ali ku ssimu.
Embeera yonna eyinza okutuuka ku Tanasha Donna, Zari asigala mu nseko kuba yasalawo okwesonyiwa situleesi wa Platnumz wadde balina abaana.
https://www.instagram.com/p/BuKEEOlB5ks/