Omuyimbi Ragga Dee ali mu maziga oluvanyuma lw’ekitongole ekiteekateeka ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) okugalawo ebbaala ye eya Big Mikes sabiti eno mu bitundu bye Kololo. Kigambibwa waliwo abatuuze abeekubira enduulu mu KCCA nti ebbaala ya Ragga Dee ebalemesa okwebaka obudde obw’ekkiro olw’ebidongo okuwogana ennyo. Embeera eyo, yeyawaliriza KCCA okuyamba abatuuze, era […]
Omuyimbi Ragga Dee ali mu maziga oluvanyuma lw’ekitongole ekiteekateeka ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) okugalawo ebbaala ye eya Big Mikes sabiti eno mu bitundu bye Kololo.
Kigambibwa waliwo abatuuze abeekubira enduulu mu KCCA nti ebbaala ya Ragga Dee ebalemesa okwebaka obudde obw’ekkiro olw’ebidongo okuwogana ennyo.
Embeera eyo, yeyawaliriza KCCA okuyamba abatuuze, era ebbaala ya Ragga Dee yaggaddwa.
Wabula Ragga Dee agambye nti afiiriddwa obukadde obusukka mu 70 olw’ebbaala okugalwa era essaawa yonna ekitongole ekya KCCA akitwala mu kkooti.