AUDIO ENKAMBWE! Jazmine asindikidde Rema obubaka, ayogedde amazima ku ky’okufuna essanyu okuva ku waaya ya Eddy Kenzo

©GALAXY

Omuyimbi Lydia Jazmine avuddeyo ku bigambibwa nti avuganya ku waaya ya Rema Namakula eri bba Eddy Kenzo. Okuva omwaka oguwedde ogwa 2018, ebigambo bwe byatandika okuyitingana nti Jazmine alambuza Kenzo ebyalo era mbu waaya ya Kenzo kye kintu ekiwa Jazmine essanyu. Omwaka oguwedde, Jazmine ne Kenzo baali mu kibuga Dubai era bangi ku bannayuganda batandikirawo […]


Omuyimbi Lydia Jazmine avuddeyo ku bigambibwa nti avuganya ku waaya ya Rema Namakula eri bba Eddy Kenzo.

Okuva omwaka oguwedde ogwa 2018, ebigambo bwe byatandika okuyitingana nti Jazmine alambuza Kenzo ebyalo era mbu waaya ya Kenzo kye kintu ekiwa Jazmine essanyu.

Omwaka oguwedde, Jazmine ne Kenzo baali mu kibuga Dubai era bangi ku bannayuganda batandikirawo okubyogera nti tewali nsonga eyinza kubagata okuggyako okwekuba amatooke.

Ku nsonga ezo, omusasi waffe Mr Henry ayogeddeko ne Jazmine okulambulula enkolagana wakati we ne Kenzo.

Kenzo n'omukyala Rema
Kenzo n’omukyala Rema

Jazmine agamba nti Kenzo mukwano gwe nnyo kuba muyimbi kyokka ebigambibwa nti agabula Kenzo ebintu, buli muntu yenna alina eddembe okwogera.

Mungeri y’emu agambye nti ye mukyala mukozi nnyo era asobola okwebezaawo mu mbeera yonna omuli n’okusasula ssente z’ennyumba n’ebintu ebirala.

Jazmine agamba nti buli muntu yenna alina eddembe okwogera ebigambo byabwe era tayinza kwanukula abagamba nti ayagala Kenzo.

Kinnajjukirwa nti omwaka oguwedde, Kenzo bwe yali yetekeratekera konsati y’okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba, yategeeza nti waliwo abantu abamulwanyisa nga beeyambisa okutabangula famire ye.

Yategeeza nti ebigambo ebyokwerwa abantu abenjawulo ku famire ye, byongedde okumunafuya mu by’okuyimba.

 

Eddoboozi lya Jazmine