Kyaddaki omwogezi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Mulindwa Rodgers agambye nti ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni n’omuzannyi w’omupiira Lionel Messi tewali njawulo. Mulindwa bwe yabadde ku NBS TV olunnaku olw’eggulo, yagambye nti Museveni akoze bulungi nnyo okuweesa ekibiina kyabwe ekitiibwa n’okubaletera obuwanguzi era zezimu ku nsonga lwaki olukiiko lwa NRM olufuzi olwa […]
Kyaddaki omwogezi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Mulindwa Rodgers agambye nti ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni n’omuzannyi w’omupiira Lionel Messi tewali njawulo.
Mulindwa bwe yabadde ku NBS TV olunnaku olw’eggulo, yagambye nti Museveni akoze bulungi nnyo okuweesa ekibiina kyabwe ekitiibwa n’okubaletera obuwanguzi era zezimu ku nsonga lwaki olukiiko lwa NRM olufuzi olwa Central Executive Committee (CEC) lwayisizza ekiteeso Museveni okuddamu okwesimbawo mu kamyufu kekibiina nga tavuganyiziddwa kuba 2021, alina okukwatira ekibiina kaada mu kulonda kwa Pulezidenti.

Mungeri y’emu agambye nti Museveni ne Lionel Messi owa Barcelona tewali njawulo kuba omuntu omulungi tewali ayinza kumusindikiriza.
Agamba nti obulungi bwa Messi y’emu ku nsonga lwaki abatendesi bamwesiga nnyo okusamba buli mupiira kuba aleeta obuwanguzi.
Mulindwa agamba nti engeri Barcelona gye yeesiga Messi y’engeri y’emu NRM gye yeesiga Museveni buli kulonda kuba abaletere obuwanguzi.