Omubaka wa Uganda mu ggwanga erya Burundi Maj. Gen Matayo Kyaligonza talina musango era tewali nsonga yonna lwaki akwattibwa. Olunnaku olw’eggulo, Maj. Gen Kyaligonza yalabikidde mu katambi ku mutimbagano gwa yintaneeti ng’abakuumi be basika offiisa wa tulafiki amataayi mu bitundu bye Seeta mu Disitulikiti y’e Mukono. Omusirikale wa tulafiki eyakubiddwa, ategeerekeseko erya Esther Namaganda era […]
Omubaka wa Uganda mu ggwanga erya Burundi Maj. Gen Matayo Kyaligonza talina musango era tewali nsonga yonna lwaki akwattibwa.
Olunnaku olw’eggulo, Maj. Gen Kyaligonza yalabikidde mu katambi ku mutimbagano gwa yintaneeti ng’abakuumi be basika offiisa wa tulafiki amataayi mu bitundu bye Seeta mu Disitulikiti y’e Mukono.

Omusirikale wa tulafiki eyakubiddwa, ategeerekeseko erya Esther Namaganda era agamba nti yabadde ku mirimu gye okulemesa emmotooka ya Maj. Gen Kyaligonza okuwetera mu kifo ekikyamu mu kkubo ekitakirizibwa mu mateeka.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole eky’amaggye Brigadier Richard Karemire abasirikale abaakubye omukyala bakwattiddwa RA/221607 L/CPL Peter Bushindiki ne RA/230927 Pte John Robert Okurut.

Mungeri y’emu agambye nti Maj. Gen Kyaligonza talina musango kuba tewali bujjulizi bwonna nti yenyigidde mu kukuba wa tulafiki Namaganda.
Wabula Namaganda agamba nti Maj. Gen Kyaligonza yamukubye oluyi wakati mu bantu ku matama era mu kiseera kino alumizibwa nnyo.