Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avuddeyo ku nsonga z’omubaka wa Uganda mu ggwanga erya Burundi Maj Gen Matayo Kyaligonza n’abakuumi be, okutwalira amateeka mu ngalo. Olunnaku olw’eggulo mu katawuni ke Seeta mu disitulikiti y’e Mukono, Maj Gen Kyaligonza n’abakuumi be Peter Bushindiki ne John Robert Okurut bakubye […]
Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avuddeyo ku nsonga z’omubaka wa Uganda mu ggwanga erya Burundi Maj Gen Matayo Kyaligonza n’abakuumi be, okutwalira amateeka mu ngalo.
Olunnaku olw’eggulo mu katawuni ke Seeta mu disitulikiti y’e Mukono, Maj Gen Kyaligonza n’abakuumi be Peter Bushindiki ne John Robert Okurut bakubye omusirikale wa Tulafiki Esther Namaganda, bwe yabadde egezaako okubalemesa okukyukira ekifo, ekitakirizibwa mu mateeka.
Wabula Bobi Wine agambye nti bannayuganda balina okuvaayo okulwanyisa obutali bwenkanya mu ggwanga lyabwe n’okulwanyisa ebikolwa bya Kyaligonza okweyongera.
Mungeri y’emu agambye nti tebalwanyisa musirikale yenna mu ggwanga wabula bagezaako okubalwanirira okukyusa embeera zaabwe n’okweyagalira mulimu gwaabwe.
Mu lungereza, Bobi Wine agambye nti, “Remember when I said, “Afande, we are not fighting you. We are fighting for you.” This is what I meant. @PoliceUg We are fighting for you. We are fighting for your dignity. For your well being. We are fighting so that you can be respected in your country- in your uniform. We are fighting so that your work can be appreciated and not demeaned. We are fighting so that you are not harassed by your superiors for doing your job. We are fighting to put an end to this kind of impunity“.
Ebigambo bya Bobi Wine, kabonero akalaga nti 2021 bannayuganda singa bakyusa obuyinza, ebikolwa bya Maj Gen Matayo Kyaligonza bisobola okukendera.
Mungeri y’emu ebigambo bye biraga nti Gavumenti ya National Resistance Movement (NRM) ekulemberwa Yoweri Kaguta Museveni kirabika eremeddwa okubirwanyisa.