Ekitongole ky’amaggye ekya Uganda Peoples’ Defence Force (UPDF) kikutte bannamaggye abalabikidde mu katambi ku mutimbagano gwa yintaneeti akalaga abakuumi ba munnamagye Maj. Gen Matoyo Kyaligonza nga basika offiisa wa tulafiki amataayi mu bitundu bye Seeta mu Disitulikiti y’e Mukono olunnaku olw’eggulo ku Ssande. Omusirikale wa tulafiki eyakubiddwa, ategeerekeseko erya Namaganda era agamba nti yakubiddwa nnyo […]
Ekitongole ky’amaggye ekya Uganda Peoples’ Defence Force (UPDF) kikutte bannamaggye abalabikidde mu katambi ku mutimbagano gwa yintaneeti akalaga abakuumi ba munnamagye Maj. Gen Matoyo Kyaligonza nga basika offiisa wa tulafiki amataayi mu bitundu bye Seeta mu Disitulikiti y’e Mukono olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Omusirikale wa tulafiki eyakubiddwa, ategeerekeseko erya Namaganda era agamba nti yakubiddwa nnyo amatu n’okutyoboola omulimu gwe.
Wabula omwogezi w’ekitongole eky’amaggye Brigadier Richard Karemire agamba nti abasirikale bonna bakwattiddwa era mu bakuumibwa Makindye.
Abakwattiddwa kuliko RA/221607 L/CPL Peter Bushindiki ne RA/230927 Pte John Robert Okurut okuyambako amaggye okunoonyereza.
Mu kiseera kino, Maj. Gen Matoyo Kyaligonza ye mubaka wa Uganda mu ggwanga erya Burundi.