ONE CHANCE! MC Kats akooye embeera embi okubojjerera vuvuzera ya Nabukalu, abuulidde Fille amazima wakati mu mukwano

©GALAXY

MC Kats awadde abantu enseko bwategezeza nti mu kiseera kino talina mupiira mutongole gwakuba. MC Kats bwe yabadde mu kivvulu kya Roast and Rhyme ku Jahazi Pier e Munyonyo, yabadde talina mukyala wadde omuwala yenna era obwedda alya yekka obulamu. Bwe yatukiriddwa omusasi waffe, MC Kats yagambye nti talina mukyala mu kiseera kino era kati […]


MC Kats awadde abantu enseko bwategezeza nti mu kiseera kino talina mupiira mutongole gwakuba.

MC Kats bwe yabadde mu kivvulu kya Roast and Rhyme ku Jahazi Pier e Munyonyo, yabadde talina mukyala wadde omuwala yenna era obwedda alya yekka obulamu.

Bwe yatukiriddwa omusasi waffe, MC Kats yagambye nti talina mukyala mu kiseera kino era kati “freelance”, ekivunulwa nti talina mukyala wankalakalira, wabula okubojjerera abawala abenjawulo okweggyako ebirowoozo n’ennyonta ya waaya.

MC Kats ne Fille
MC Kats ne Fille

Mungeri y’emu agambye nti ennaku zino talina mmundu, yagitutte ku ggoombolola oluvanyuma lw’omukyala Fille okugenda.

MC Kats era agambye nti ye ali mu mbeera nungi nnyo wadde talina mukyala ne Fille ali bulungi akola mirimu gye.

Ebigambo bye, biraga nti alina esuubi nti omukyala Fille ayinza okumusonyiwa okudda mu maka.