LAAVU EMUWUNZIZZA! Sheilah Gashumba akutudde kitaawe Gashumba omutima, amubulidde amazima ekiddako wakati we ne Marcus, obulungi bwa waaya bumutabudde

©GALAXY

Muwala wa Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda, Sheilah Gashumba akutudde kitaawe omutima olw’engeri gy’awaana omukwano muganzi we Marcus Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan. Sheilah ali mu mukwano omuyitirivu nnyo ne Marcus era mwetegefu okukola kyonna, okukuuma omukwano gwaabwe era y’emu ku nsonga lwaki buli kyakola n’omusajja alina okukiteeka ku mutimbagano gwa yintanenti omuli Face […]


Muwala wa Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda, Sheilah Gashumba akutudde kitaawe omutima olw’engeri gy’awaana omukwano muganzi we Marcus Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan.

Sheilah ali mu mukwano omuyitirivu nnyo ne Marcus era mwetegefu okukola kyonna, okukuuma omukwano gwaabwe era y’emu ku nsonga lwaki buli kyakola n’omusajja alina okukiteeka ku mutimbagano gwa yintanenti omuli Face Book ne Instagram okulaga ensi nti mu kiseera kino omusajja yamwekwata.

Mu Uganda, Frank Gashumba amanyikiddwa nga Taata ayagala ennyo abaana era y’emu ku nsonga lwaki akoze kyonna ekisoboka, okukuuma Sheilah mu mbeera enungi, okumutwala mu masomero ag’ebbeeyi wadde talina nnyo n’okumulambika okwewala abasajja abayinza okumuggya ku mulamwa.

Gashumba avuddeyo emirundi mingi ku mikutu egyenjawulo “nti omuwala yenna alina okufuna omusajja alina ku ssente kuba okunoonya omusajja olwa 6 Pack , tekigenda kuyamba kuba 6 Pack tezitwala muntu yenna mu ddwaaliro wadde okufuna eky’okulya”.

Kigambibwa Marcus alinawo ku ssente kyokka tekimanyiddwa oba Frank Gashumba musanyufu olwa muwala we Sheilah okusalawo okwagala omulenzi oyo kuba tanaba kuvaayo kukyogerako wadde y’omu ku basajja abanyumirwa omutimbagano n’okusingira ddala ogwa Face Book.

Tekimanyiddwa oba Gashumba musanyufu olwa muwala we okufuna omulenzi oba munyivu wabula Sheilah tayagala kumanya kuba asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza Omutonzi okumuletera omulenzi ategeera bulungi ensonga za laavu n’amwerabiza ennaku y’abasajja abalala ababadde bamuliira obwereere, “Lord, Thank You for the gift of love, God bless you more”.

https://www.instagram.com/p/BuQ7dG9Bbz7/