AMAZIGA! UNEB efulumizza ebyavudde mu bigezo bya S6, bibino ebikwatiddwa n’abagudde n’enkoona n’enywa

©GALAXY

Ebigezo by’abayizi 91 bikwatiddwa okuva mu massomero gye batuulira 21 ku bigambibwa nti benyigira mu kumenya amateeka omuli okubba ebigezo, okuyambibwako abasomesa ssaako n’abamu okukyusa ebigezo bye baali balina okutuula. Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekitongole eky’ebigezo Dan Odongo, ebigezo ebikwatiddwa mwe muli n’eby’essomero lya Seesa HS, Kakungube mu disitulikiti y’e Kasanda omuli okwenyigira mu kubba ebya […]


Ebigezo by’abayizi 91 bikwatiddwa okuva mu massomero gye batuulira 21 ku bigambibwa nti benyigira mu kumenya amateeka omuli okubba ebigezo, okuyambibwako abasomesa ssaako n’abamu okukyusa ebigezo bye baali balina okutuula.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekitongole eky’ebigezo Dan Odongo, ebigezo ebikwatiddwa mwe muli n’eby’essomero lya Seesa HS, Kakungube mu disitulikiti y’e Kasanda omuli okwenyigira mu kubba ebya S4 ne S6 era byonna bikwatiddwa.

Ku bayizi 99672 abaali bewandiisa okutuula ebigezo, abayizi 98,524 bebatuula,  ate abayizi 95,839 bonna bayise, ng’abawala bakola ebitundu 41.6 %.

Ebigezo, biraze nti abayizi ku mulundi gunno, bakoze bulungi nnyo okusinga omwaka oguwedde ogwa 2017, ate ebigezo byonna, abawala bakoze bulungi nnyo okusinga ku balenzi.

Abayizi 36,656 bafunye Principal passes 3, 26,467 Principal passes 2, ate 20,413 Principal pass 1, ate abayizi 1,489 bagudde n’enkoona n’enywa.

Abawala bakoze bulungi Physics, Agriculture ne Art ate abalenzi beriisizza nkuuli Chemistry, Biology, General paper n’okubala

Okusinzira ku ssentebbe w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, Prof Mary Okwakol, abayizi ebitundu 98.6 % basobodde okuyita ebigezo.
Mungeri y’emu alabudde abakulira amassomero abagufudde omuze okuwa abazadde ebivudde mu bigezo nga bikyamu okubakyamukiriza, okukikomya.

Ebigezo bifulumiziddwa minisita omubeezi avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu John Chrysestom Muyingo era atendereza abayizi okuyita obulungi ebigezo olwa bayizi abasukka mu 98 % okufuna ebbaluwa ezibakirizisa okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti mu kitundu kyonna.

Minisita Muyingo era akowodde abantu bonna okwegata omuli abasomesa, abakulira amassomero n’abazadde okulwanyisa obuli bw’enguzi massomero kuba y’emu ku nsonga lwaki abantu benyigira mu kubba ebigezo n’okubira abayizi.

Engeri abayizi gye bakozeemu ebigezo