ESSANNYU! Diamond Platnumz amenye likodi ya Bobi Wine, Bebe Cool, Chameleone n’abalala, alaze kye bayita omutindo

©GALAXY

Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti mu East Africa y’omu ku bayimbi abenene era abaliko mu kiseera kino. Platnumz amenye likodi y’abayimbi bangi nnyo mu Africa, bwawezeza abantu 40,439,095 abaakalaba vidiyo y’oluyimba lwe Kwangwaru ne Harmonize  ku mukutu ogwa U-tube mu myezi 10. Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima abantu bonna mu nsi yonna abasobodde […]


Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti mu East Africa y’omu ku bayimbi abenene era abaliko mu kiseera kino.

Platnumz amenye likodi y’abayimbi bangi nnyo mu Africa, bwawezeza abantu 40,439,095 abaakalaba vidiyo y’oluyimba lwe Kwangwaru ne Harmonize  ku mukutu ogwa U-tube mu myezi 10.

Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima abantu bonna mu nsi yonna abasobodde okulaba vidiyo ze.

Likodi ya Platnumz ereese okusomooza okwenjawulo eri abayimbi bannayuganda bangi omuli Bebe Cool, Bobi Wine, Dr Jose Chameleone, Eddy Kenzo, Sheebah Kalungi n’abalala.

Bannayuganda balina okunoonyereza lwaki Platnumz akola bulungi nnyo ku mitimbagano egyenjawulo omuli n’omukutu ogwa U-tube kuba kimufudde omuyimbi owenjawulo.