GGWE OKISOBOLA! Tanasha akoze ekyalema Zari okukola mu lwatu, amaliridde okwerabiza Platnumz kandaka z’abakyala abalala

©GALAXY

Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi nnyo bikyuka era abaagalana baagala nnyo embeera eyo omuli ngeri y’okweraga amapenzi, okulabirira munno, okukwatagana ku mikono, okwegwa mu kifuba, okwenywegera n’ebintu ebirala bingi ebikolebwa okulaga omukwano. Abali mu mukwano, bategeera bulungi embeera eyo era bangi bagyegomba okugisigalamu. Mu Uganda, bantu balina obukodyo obwenjawulo obuyamba abaagalana okusigala mu ssannyu n’okuwangala […]


Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi nnyo bikyuka era abaagalana baagala nnyo embeera eyo omuli ngeri y’okweraga amapenzi, okulabirira munno, okukwatagana ku mikono, okwegwa mu kifuba, okwenywegera n’ebintu ebirala bingi ebikolebwa okulaga omukwano.

Abali mu mukwano, bategeera bulungi embeera eyo era bangi bagyegomba okugisigalamu.

Mu Uganda, bantu balina obukodyo obwenjawulo obuyamba abaagalana okusigala mu ssannyu n’okuwangala omuli obukodyo mu ngeri gy’osabamu munno akaboozi, okuweeweeta ku munno, okussaawo embeera munno asobole okukwesunga, okwawula essaawa ze munyumiza ku bya laavu kweyo gye mwogerera ku bizibu byammwe n’ebibasoomooza, okulaga munno nti nti omwetaaga mu bulamu bwo n’obulala.

Wabula mwana muwala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch alaze lwaki yetegese okuwangaza omukwano wakati we ne muganzi we Omutanzaniya, omuyimbi Diamond Platnumz.

Tanasha asazeewo okukyusa erinnya lya Platnumz wakati mu mukwano gwaabwe era amuwadde erinnya lwa ‘Daddy”.

Kigambibwa Tanasha atandiise okukola ebintu ebyenjawulo ebyalema Zari Hassan okukola era y’emu ku nsonga lwaki yalemagana ne bba Platnumz.

Wadde Tanasha alina ku ssente kuba akola ku laadiyo mu ggwanga erya Kenya, afukaamirira bba Platnumz ku nsonga ezenjawulo okulaga nti amuwa ekitiibwa ng’omusajja n’okusiima omukwano gwe.

Okussa ebisoko mu mukwano y’emu ku nsonga lwaki laavu eyinza okuwangala era kigambibwa nti Tanasha wadde muwala muto, ategeera kye bayita omukwano bwe kituuka mu kisenge, era essanyu Platnumz lyafuna okuva eri Tanasha, tayinza kujjukira Zari okumukomyawo mu maka.