KANYABO! Muka Mbuga, Vivienne Chebet asindikiddwa e Luzira, Gavt ereese bwiino omukambwe

©GALAXY

Mukyala wa Sulaiman Kabangala Mbuga (SK Mbuga), Angela Vivienne Chebet asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa 13, March, 2019. Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Chebet yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Pamella Lamunu Ocaya mu kkooti erwanyisa obulyake n’obukenuzi mu Kampala era yaguddwako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku munnansi wa Sweden Heinsoo Sten eyali […]


Mukyala wa Sulaiman Kabangala Mbuga (SK Mbuga), Angela Vivienne Chebet asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa 13, March, 2019.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Chebet yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Pamella Lamunu Ocaya mu kkooti erwanyisa obulyake n’obukenuzi mu Kampala era yaguddwako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku munnansi wa Sweden Heinsoo Sten eyali muganzi we, naziteeka kw’akawunti ye mu bbanka wanno mu Uganda wakati wa April ne May 2015.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Chebet omutuuze we Buziga, Upper Konge mu ggoombolola y’e Makindye mu Kampala yafuna $51800 ( obukadde bwa ssente 152) mu ngeri emenya amateeka.

Nga 7, April, 2015, Chebet era yafuna ssente mu lukujjukujju ng’asuubiza okusinda zzaabu.

Mu ngeri y’emu SK Mbuga n’omukyala Chebet bavunaanibwa okunyaga ssente ku Muzungu.
Chebet ye yanyaga ssente ezisukka mu buwumbi 23 obwa Uganda okuva ku eyali muganzi we Omuzungu Sten Heinsoo era y’emu ku nsonga lwaki yakwatiddwa.
Nga 14, February 2019 lwe yakwatibwa mu Kampala era kigambibwa nti bagenda kumutwala mu ggwanga erya Denmark okuvunaanibwa emisango gy’okufera ssente ne bba SK Mbuga.