Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwooza omusolo mu ggwanga ekya (URA) kiwadde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ennaku 7 zokka, okusasula ebanja eribanjibwa oba okukwatibwa. Okusinzira ku URA, Bobi Wine abanjibwa obukadde 57 ez’omusolo gwa makaage e Magere, One Love Beach e Busabaala n’ogw’ekizimbe ekya Ssemakokiro e Kamwokya. Ian […]
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwooza omusolo mu ggwanga ekya (URA) kiwadde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ennaku 7 zokka, okusasula ebanja eribanjibwa oba okukwatibwa.
Okusinzira ku URA, Bobi Wine abanjibwa obukadde 57 ez’omusolo gwa makaage e Magere, One Love Beach e Busabaala n’ogw’ekizimbe ekya Ssemakokiro e Kamwokya.
Ian Rumanyika omukozi mu kitongole ekya URA agamba nti Bobi Wine abanjibwa okuva mu 2008.
Mu kiseera kino Bobi Wine ali mu ggwanga erya Tanzania era tewali amanyiddwa oba yafunye okulabula kwa URA okusasula ebanja mu nnaku ezimuweereddwa.
Kimanyiddwa nti Bobi Wine omwezi oguwedde ogwa Febwali yasuubiza nti 2021 ayinza okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga, okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.