KIWEDDE! Rema asemberedde okuwangula ‘Award’ lwa Kenzo, bibino ebimufudde omukyala ow’enjawulo mu Uganda

©GALAXY

Mu Buganda, omwana omuwala okukyalira bassenga kiteekebwako nnyo essira kuba kiyamba mu ngeri ezenjawulo. Bassenga bayamba mu kubirizza abawala okukyalira ensiko kuba nnono ya Buganda n’amawanga amalala, okubalambika enkwata y’abasajja mu kisenge n’engeri endala. Mungeri eyo, omuyimbi Rema Namakula agwanidde okufuna ‘Award’ kuba ku myaka gye emito 27, asobodde okulaga nti yabuulirirwa bulungi nnyo. Mu […]


Mu Buganda, omwana omuwala okukyalira bassenga kiteekebwako nnyo essira kuba kiyamba mu ngeri ezenjawulo.

Bassenga bayamba mu kubirizza abawala okukyalira ensiko kuba nnono ya Buganda n’amawanga amalala, okubalambika enkwata y’abasajja mu kisenge n’engeri endala.

Mungeri eyo, omuyimbi Rema Namakula agwanidde okufuna ‘Award’ kuba ku myaka gye emito 27, asobodde okulaga nti yabuulirirwa bulungi nnyo.

Mu Uganda, Rema afunye okusomozebwa okwamaanyi mu bufumbo bwe wakati we ne bba Eddy Kenzo.

Emirundi mingi, babadde bagamba nti bba Kenzo alina abakyala abenjawulo era mbu atabaala vuvuzera zaabwe omuli Lydia Jazmine, Pia Pounds n’abalala kyokka byonna Rema abiwulira mu lugambo, talina  bukakafu.

Omuwala eyafuna okubulirirwa okuva mu Bassenga, alina engeri gyakwatamu ensonga mu bufumbo.

Omuwala yenna ayagala okuwangaaza obufumbo alina okusengejja ensonga, okwesiga munne, okuwuliziganya, okuwa omusajja ekitiibwa wadde olina ku ssente, okwesonyiwa ebigambo by’abantu abalala n’okwewala okulondoola omusajja.

Wadde Rema y’omu ku bawala abalina obufumbo ng’abantu bamuwa ebigambo ebyenjawulo n’okubisoma mu mawulire, asobodde bulungi nnyo okusengejja ensonga ezikwata ku bufumbo bwe era y’emu ku nsonga lwaki akyali mu bufumbo.

Mu bitundu by’eggwanga ebyanjawulo, abakyala bangi abasuddewo obufumbo lwa bigambo wabula Rema wadde afuna ebigambo ku bba Kenzo buli lunnaku, yasomesebwa kye bayita obufumbo era bambi agwanidde ‘Award’ kuba kyakulabirako kirungi eri abawala abalowooza nti balungi nnyo.

Rema ne Kenzo balina omwana omu, Aamaal Musuuza gwe yazaala mu 2014.