Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avumiridde effujjo eryakoleddwa ku Dr Kizza Besigye olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga bwe yabadde ava ku CBS mu Pulogulamu Palamenti yaffe. Kigambibwa nti abawagizi b’ekisinde kya ‘People Power’ ekikulemberwa Bobi Wine babadde balindiridde Dr Besigye wabweru w’ekizimbe Masengere e Mmengo era Besigye olwavudde […]
Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avumiridde effujjo eryakoleddwa ku Dr Kizza Besigye olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga bwe yabadde ava ku CBS mu Pulogulamu Palamenti yaffe.
Kigambibwa nti abawagizi b’ekisinde kya ‘People Power’ ekikulemberwa Bobi Wine babadde balindiridde Dr Besigye wabweru w’ekizimbe Masengere e Mmengo era Besigye olwavudde mu situdiyo, kwekumulumba nga bayimba People Power, twagala Bobi Wine, Besigye twakukoowa”.
Mu mbeera eyo, Dr Kizza Besigye yayanguye okulinya emmotoka navaawo kyokka okulwanagana kweyongedde wakati w’abawagizi ba Dr Besigye ne Bobi Wine era Poliisi yayitiddwa okutebenkeza embeera.
Wabula Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okuvumirira effujjo eryakoleddwa ku Dr Besigye.
Bobi Wine agamba nti People Power si kisinde kya bakozi ba ffujjo era abantu bonna abakiririza mu nkola ze, balina okulyewala.
Mungeri y’emu agambye nti abantu bonna abaagala enkyukakyuka balina okwegatta. Bobi agamba nti Dr Besigye n’abantu abalala bakoze nnyo okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga wadde bangi ku bannansi balina enjawukana mu nkola y’emirimu kyokka abantu bonna balina okuweebwa ekitiibwa. Bobi agamba nti bannayuganda balina okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga wabula si kwerwanyisa.
Bobi Wine asuubizza okunoonyereza ekyavudde obuzibu n’embeera yonna n’okuzuula oba abawagizi b’ekisinde kya People Power beebakoze obulumbaganyi ku Dr Kizza Besigye olunnaku olw’eggulo.
Mungeri alabudde aba People Power nti mu kiseera kino nga betaaga enkyukakyuka mu ggwanga, buli muntu yenna bamwetaaga nga tewali kulwanagana.
Ku face Boook, agambye nti,
“I have learnt that a group of people gathered outside CBS radio station earlier today, and heckled Dr. Kizza Besigye as he left the studio. Apparently, most of these people were chanting the #People_Power slogan. This is regrettable.
First of all, as I have always said, the #People_Power movement is a non-violent movement. We do not condone acts of violence against anyone. Let me once again implore all our supporters across the country to understand this and put it into practice.
Secondly, we believe in the unity of all forces of change in Uganda. Dr. Kizza Besigye has been such a strong pillar for the forces of change- alongside other men and women who have made immense sacrifices for this struggle. Regardless of any real or perceived disagreements in the strategy or tactics of taking the struggle forward, all of us must treat each other with respect. We cannot be fighting amongst ourselves. We must shoot in the same goal.
Thirdly and finally, regarding this specific event, we are still trying to establish clear facts surrounding the incident. Those who have followed the politics of this country will understand that such stunts and machinations have in the past been stage-managed by the state and some other actors to achieve political objectives. Therefore, we are yet to come to a conclusion after fully investigating the incident. Should we find that some of the people involved genuinely belong to #People_Power, we shall take measures to fully address this.
On our part, we continue to engage all forces of change, including Comrade Dr. Besigye on how to take the struggle to the next phase. We shall not allow anything and anybody to distract us from this important mission. #WeMustStayFocused
#UnityIsStrength
#PeoplePower_OurPower”.