ESSANNYU! Omubaka Zaake awonye ekkomera, omulamuzi Mubiru amukirizza okweyimirirwa, omukyala amwesunga kumulambuza byalo

©GALAXY

Kkooti enkulu e Gulu ekubirizibwa omulamuzi Stephen Mubiru enkya ya leero eyimbudde omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake, kakalu ka kkooti ka bukadde 5 ezitali za buliwo. Zaake aleese abantu basatu (3) abamweyimiridde okubadde omubaka we Butambala, Muwanga Kivumbi, Mugambura Daniel n’omukyala Nnamirembe Bridget Ndagire era buli omu asabiddwa obukadde 10 ezitali za buliwo. […]


Kkooti enkulu e Gulu ekubirizibwa omulamuzi Stephen Mubiru enkya ya leero eyimbudde omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake, kakalu ka kkooti ka bukadde 5 ezitali za buliwo.

Zaake aleese abantu basatu (3) abamweyimiridde okubadde omubaka we Butambala, Muwanga Kivumbi, Mugambura Daniel n’omukyala Nnamirembe Bridget Ndagire era buli omu asabiddwa obukadde 10 ezitali za buliwo.

Okuyimbulwa, munnamateeka we Henry Kilama Komakech ategeezeza omulamuzi Mubiru nti omuntu we agondera amateeka era omulamuzi kw’asinzidde okumuyimbula, namulagira okudda mu kkooti nga 14, March, 2019.

Kkooti ebadde ekubyeko abantu abenjawulo omuli Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Gilbert Oulanya, Allan Ssewanyana, Lafit Ssebagala n’abalala.

Oluvudde mu kkooti, Zaake agambye nti okusindikibwa ku Limanda mu kkomera e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, kyongedde okukosa obulamu bwe kuba akyali mulwadde kwebyo ebyamutuusibwako mu bitundu bye Arua omwaka oguwedde ogwa 2018 era akyali ku bujanjabi.

Zaake avunaanibwa ne banne abasukka 30 omuli omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu, Kasiona Wadri, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga n’abalala kubigambibwa nti baakuba, emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amayinja, endabirwamu n’eyiika nga 13, August, 2018 we baali banoonya akalulu k’omubaka w’ekibuga Arua, okudda mu bigere bya munna NRM Ibrahim Abiriga eyattibwa.