Poliisi mu ggwanga erya Tanzania ekutte abasawo b’ekinnansi 65 ku by’okusaddaka abaana abasukka mu 10. Abaana abateeberezebwa okuba nga baasaddaakibwa mu Janwali wa 2019 era abamu basalibwako ebitundu by’ekyama. Kigambibwa nti bangi ku bannansi mu ggwanga erya Tanzania, benyigira mu kusaddaka abantu nga balowooza nti basobola okufuna ensimbi. Wabula Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga erya […]
Poliisi mu ggwanga erya Tanzania ekutte abasawo b’ekinnansi 65 ku by’okusaddaka abaana abasukka mu 10.
Abaana abateeberezebwa okuba nga baasaddaakibwa mu Janwali wa 2019 era abamu basalibwako ebitundu by’ekyama.
Kigambibwa nti bangi ku bannansi mu ggwanga erya Tanzania, benyigira mu kusaddaka abantu nga balowooza nti basobola okufuna ensimbi.
Wabula Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga erya Tanzania Simon Sirro, afulumizza ekiwandiiko ekikambwe buli musawo w’ekinnansi okufuna layisinsi, emukiriza okutambuza emirimu.
Mungeri y’emu Sirro asabye bannadiini n’abakulembeze okuyambako okulwanyisa ebikolobero by’okusaddaka abantu.
Bbo abasawo b’ekinnansi abakwattiddwa essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.