AMAZIGA! Entiisa mu kibuga, Omulamuzi, bba n’abaana 3 basindiriddwa amasasi agabattiddewo, Poliisi ezinzeeko ekifo kyonna

©GALAXY

Entiisa ebutikidde eggwanga erya South Africa mu Kibuga Durban famire y’abantu 5 bw’esangiddwa ng’ettiddwa, ng’emirambo gyabwe giriko ebiwundu bya masasi. Abattiddwa kuliko abakulu babiri (2) n’abaana basatu (3). Wabula omwogezi wa Poliisi Lt Col Thulani Zwane agambye nti abattiddwa kuliko omulamuzi omukyala ne bba ssaako n’abaana baabwe 3. Emu ku mmundu eyakozeseddwa okutta, esangiddwa mu […]


Entiisa ebutikidde eggwanga erya South Africa mu Kibuga Durban famire y’abantu 5 bw’esangiddwa ng’ettiddwa, ng’emirambo gyabwe giriko ebiwundu bya masasi.

Abattiddwa kuliko abakulu babiri (2) n’abaana basatu (3).

Wabula omwogezi wa Poliisi Lt Col Thulani Zwane agambye nti abattiddwa kuliko omulamuzi omukyala ne bba ssaako n’abaana baabwe 3.

Emu ku mmundu eyakozeseddwa okutta, esangiddwa mu nnyumba era kiteeberezebwa nti emisango omukyala omulamuzi gyaliko y’emu ku nsonga lwaki attiddwa mu bukambwe.

Yo Poliisi etandikiddewo okunoonyereza ku ttemu eryo.