Poliisi y’e Kawempe ekutte abantu bana (4) ku by’okubba emmotoka ku ntandikwa ya sabiti eno. Emmotoka eyabiddwa kika kya Toyota premio, njeru, namba UAK 672X era mu kiseera kino ekuumibwa ku Poliisi y’e Kawempe. Poliisi egamba nti, yafunye amawulire nti waliwo emmotoka etundibwa, kyokka bageenze okugituukako nga abagitunda tebalina kiwandiiko kyonna. Abakwate bakiriza okwenyigira mu […]
Poliisi y’e Kawempe ekutte abantu bana (4) ku by’okubba emmotoka ku ntandikwa ya sabiti eno.
Emmotoka eyabiddwa kika kya Toyota premio, njeru, namba UAK 672X era mu kiseera kino ekuumibwa ku Poliisi y’e Kawempe.
Poliisi egamba nti, yafunye amawulire nti waliwo emmotoka etundibwa, kyokka bageenze okugituukako nga abagitunda tebalina kiwandiiko kyonna.
Abakwate bakiriza okwenyigira mu kubba emmotoka mu bitundu bye Mukono, Kayunga ne Buikwe era mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Kawempe ku misango gy’okubba emmotoka.