Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine amaliridde okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino mu 2021, okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni. Bobi Wine agamba nti bannayuganda bakooye embeera embi era okwegata mu 2021 ku ludda oluvuganya, kigenda kubayamba okuwangula Museveni, obuyinza okudda […]
Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine amaliridde okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino mu 2021, okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Bobi Wine agamba nti bannayuganda bakooye embeera embi era okwegata mu 2021 ku ludda oluvuganya, kigenda kubayamba okuwangula Museveni, obuyinza okudda mu bantu.
Bw’abadde ku laadiyo emu mu Kampala, Bobi Wine bw’abuuziddwa nti singa awangula obukulembeze bw’eggwanga, ensonga ki zaagenda okutandikirako era mu kwanukula, awadde ensonga ezenjawulo.
Bobi Wine agambye nti,”tulina okufuna abakulembeze abagoberera amateeka mu offiisi nga bwe basobya bakangavulwa, okulwanyisa obuli bw’enguzi, ebbula ly’emirimu mu ggwanga n’okusingira ddala mu bavubuka n’okuteekawo obwenkanya mu ggwanga“.