AMUSWAZIZZA! Fik Fameica afulumizza ekyasi ky’oluyimba, atabukidde muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba era ayogedde amazima

©GALAXY

Omuyimbi Fik Fameica asindikidde muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba obubaka mu luyimba lwafulumizza olutumiddwa “Tobiloberamu“. Ebigambo mu luyimba lwa Fik, kabonero akalaga nti ye ne Sheilah baali baagalana kyokka omuwala yeyongerayo era alina omusajja omulala Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan. Mu luyimba, Fik agamba nti, “wandeka ogamba kibulamu, kati ojja ozunga olw’okuba olaba […]


Omuyimbi Fik Fameica asindikidde muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba obubaka mu luyimba lwafulumizza olutumiddwa “Tobiloberamu“.
Ebigambo mu luyimba lwa Fik, kabonero akalaga nti ye ne Sheilah baali baagalana kyokka omuwala yeyongerayo era alina omusajja omulala Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan.

Mu luyimba, Fik agamba nti, “wandeka ogamba kibulamu, kati ojja ozunga olw’okuba olaba ntereddemu, bambi nkusaba busabi ndekaamu, ebyange naawe wabiroberamu“.

Fik era asobodde okweyambisa oluyimba olwo, okulaga nti mu kiseera kino simwetegefu kuddamu okwagala muwala yenna mu bwangu kuba omuwala gwe yali ayagala mu bulamu bwe yamulekawo kuba kyali kibulamu mu ngeri ezenjawulo n’okusingira ddala ssente.

Wabula abamu ku bannayuganda bagamba nti obubaka bwo abadde abuweereza Sheilah Gashumba.