BAMBI! Vivienne Chebet akutuse omutima, Gavt ereese obujjulizi obukambwe mu kkooti, emikisa gy’okuddamu okweyagalira ku waaya SK Mbuga gikendedde

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti y’abalyake n’abakenuzi mu Kampala Margret Tibulya, alangiridde nga 13, March, 2019 okuwa ensala ye, kukusaba kwa Angella Vivienne Chebet muka SK Mbuga okweyimirirwa. Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente ku bba, Omungereza, Heinsoo ezisoba mu bukadde 400. Mu kkooti, munnamateeka wa Vivienne Emmanuel Wamimbi yawadde omulamuzi Tibulya ensonga ezenjawulo lwaki Vivienne agwanidde […]


Omulamuzi wa kkooti y’abalyake n’abakenuzi mu Kampala Margret Tibulya, alangiridde nga 13, March, 2019 okuwa ensala ye, kukusaba kwa Angella Vivienne Chebet muka SK Mbuga okweyimirirwa.

Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente ku bba, Omungereza, Heinsoo ezisoba mu bukadde 400.

Mu kkooti, munnamateeka wa Vivienne Emmanuel Wamimbi yawadde omulamuzi Tibulya ensonga ezenjawulo lwaki Vivienne agwanidde okweyimirirwa.

Wamimbi agamba nti SK Mbuga ali mu nkomyo e Sweden nga kuno bw’ogattako nnyina naye okuba ng’ali ku limanda mu kkomera e Luzira, kigenda kukosa abaana kuba omwana Aliana Mbuga atawaanyizibwa obulwadde ba asima nga yeetaaga okulabirira mu mbeera ennungi nga nnyina yekka y’asobola okukikola.

Vivienne yaleese abantu bataano (5) okweyimirirwa omuli Judith Kabaale, mukwano gwe Bridget Kiggundu, taata we omuto, Ismail Lwanga, mukulu we Sarah Kaweesa ne nnyina omuto Betty Kayiwa.

Wabula oludda oluwaabi luwakanya okusaba kwa Vivienne okweyimirirwa kuba singa kikolebwa, ayinza okudduka mu ggwanga kuba pasipooti ye eya Uganda teraga ngeri gye yakomawo mu ggwanga ate ng’eya Sweden gye yali akozesa yawambibwa ab’obuyinza mu ggwanga erya Sweden.

Mungeri bagamba nti Vivienne anoonyezebwa eggwanga lya Sweden era ensi z’e Bulaaya zonna zaategeezebwa naye tebamanyi ngeri gye yaddukamu kukomawo mu Uganda

Oludda oluwaabi era lugamba nti tewali bukakafu nti ku mulundi guno kkooti bw’ekkiriza ne yeeyimirirwa tadduke nga bwe yakola mu ggwanga lya Sweden gye yasooka okuvunaanibwa.

Emisango egimuvunaanibwa singa gimusinga ekibonerezo kiba kyakusibwa myaka 15 oba okutanzibwa obuwumbi bubiri (2).