Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasukka mu 400 mu kikwekweeto ekikoleddwa, okukwata abegumbulidde okumenya amateeka. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, ekikwekweeto kyakulembeddwamu adduumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano Moses Kafeero, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna. Owoyesigyire agambye nti ekikwekweeto kyakoleddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo omuli Kisenyi, Katanga n’ebitundu ebirala era […]
Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasukka mu 400 mu kikwekweeto ekikoleddwa, okukwata abegumbulidde okumenya amateeka.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, ekikwekweeto kyakulembeddwamu adduumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano Moses Kafeero, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.

Owoyesigyire agambye nti ekikwekweeto kyakoleddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo omuli Kisenyi, Katanga n’ebitundu ebirala era baazudde ebintu ebyenjawulo omuli enjaga, ebikozesebwa mu kumenya amayumba ssaako n’ebyambe.
Abakwate bali ku Poliisi y’e Katwe, Wandegeya, Kampala Mukadde ne CPS mu Kampala ku misango gy’obubbi, okusangibwa n’enjaga era Poliisi etandiise okubanonyerezaako okutwalibwa mu kkooti.