ALINA ENSONGA OBA! Andrew Mwenda alabudde Bannayuganda ku Bobi Wine, aleese bwiino yenna lwaki tagwanidde bwa Pulezidenti bwa ggwanga

©GALAXY

Munnamawulire omugundivu Andrew Mwenda alabudde bannayuganda okwekeneenya abantu abeesowolayo nga beegwanyiza entebe y’Obwapulezidenti, okusigukulula ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni. Mwenda agamba nti bangi ku bannansi mu Africa bagamba nti ekizibu kya Africa bebakulembeze ababi kyokka singa bafuna omukisa okulonda abakulembeze okutwala obuyinza, balonda abantu abatalina kyebamannyi era abatagwanidde. Mungeri y’emu […]


Munnamawulire omugundivu Andrew Mwenda alabudde bannayuganda okwekeneenya abantu abeesowolayo nga beegwanyiza entebe y’Obwapulezidenti, okusigukulula ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.

Mwenda agamba nti bangi ku bannansi mu Africa bagamba nti ekizibu kya Africa bebakulembeze ababi kyokka singa bafuna omukisa okulonda abakulembeze okutwala obuyinza, balonda abantu abatalina kyebamannyi era abatagwanidde.

Mungeri y’emu agambye nti kyewunyisa era kiswazza nnyo bannayuganda okulowooza nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yagwanidde obukulembeze bw’eggwanga ate nga bingi byatamanyi ebikwata ku ggwanga Uganda.

Ku mukutu ogwa Twitter Mwenda alambuludde,” This is the real tragedy of African elites. They continually complain that the problem of Africa is bad leaders. Yet when given a chance to select leaders they choose ignorant and idiotic characters! Look at this and tell me that @HEBobiwine represents the future we want!”.

Andrew Mwenda okulabula bannayuganda, kidiridde Bobi Wine okusinzira ku NTV sabiti eno ku Lwokuna nategeeza nti singa akwata obuyinza mu 2021, emu ku nsonga gy’alina okutandikirako, kugyawo omusolo ku massimu oguyitibwa overthe- top (OTT) service ogwa 200/- buli lunaku ku mikutu nga Facebook, WhatsApp, Twitter n’emirala.
Bobi Wine agamba nti singa omusolo ogwo guvaawo, kigenda kuyamba nnyo okutumbula ebyenfuna mu ggwanga Uganda kuba bangi ku bannansi emirimu gyabwe tegikyatambula bulungi olwa Gavumenti okuleeta omusolo gwo ogwa OTT.