Ebyentambula byasanyaladde okumala akaseera omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine bwe yabadde ayolekera ku kyalo Buswabulongo mu Monisipaali y’e Mityana mu maka g’omubaka Zaake Francis Butebi ku lunnaku Olwomukaaga mu kusaba okwenjawulo. Omubaka Zaake yategese okusaba okwebaza Omutonzi obulamu bwamuwadde n’okumuwonya ekkomera bwe yali akwattiddwa mu bitundu bye […]
Ebyentambula byasanyaladde okumala akaseera omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine bwe yabadde ayolekera ku kyalo Buswabulongo mu Monisipaali y’e Mityana mu maka g’omubaka Zaake Francis Butebi ku lunnaku Olwomukaaga mu kusaba okwenjawulo.
Omubaka Zaake yategese okusaba okwebaza Omutonzi obulamu bwamuwadde n’okumuwonya ekkomera bwe yali akwattiddwa mu bitundu bye Arua.
Okusaba kwetabiddwako abantu abenjawulo omuli ababaka ba Palamenti, abantu babuligyo wakati mu byokwerinda wabula Bobi Wine yayuugumizza ekitundu kyonna.