Kyaddaki Zuena Kimera awadde bba Bebe Cool essannyu bw’amugulidde essimu ya bukadde bwa ssente. Bebe Cool yabiddwako essimu ye ku Lwomukaaga ku bitaala bye Kira era yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza abawagizi be nti essimu ebiddwa, “Thug lucky as he snatches my fon @Kira road traffic lights. Sorry incase u call and no […]
Kyaddaki Zuena Kimera awadde bba Bebe Cool essannyu bw’amugulidde essimu ya bukadde bwa ssente.
Bebe Cool yabiddwako essimu ye ku Lwomukaaga ku bitaala bye Kira era yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza abawagizi be nti essimu ebiddwa, “Thug lucky as he snatches my fon @Kira road traffic lights. Sorry incase u call and no response“.
Wabula mu ngeri y’omukwano, mukyala we Zuena amugulidde kapyata y’essimu ekika kya “Samsung Galaxy S10+” era ku Face Book, Bebe agambye nti, “When your wife knows the GDP,u care less of the fiscal fon snatcher. Thanks my love“.
Okusinzira ku bategeera amassimu, Samsung Galaxy S10+ eri wakati wa bukadde 6 ku 7 obwa Uganda.
Wabula abavubuka abagambibwa okuba abawagizi ba People Power, batabukidde Bebe Cool okweyambisa Face Book, okulaga essimu omukyala gyamuwadde.