Kyaddaki omukyala Zari Hassan agumizza abawagizi be nti Omutonzi asobodde okuyamba era mu kiseera kino awulira bulungiko. Sabiti eno ku lunnaku Olwokusatu, ekifaananyi kyafulumizibwa nga Zari ali ku ndiri, nga mulwadde kyokka yalemwa okutegeeza abagoberezi be ku mikutu gya ‘social media’ ekituufu ekimuluma era abamu kwekutegeeza nti kirabika yafunye olubuto. Wabula Zari asobodde okweyambisa omukutu […]
Kyaddaki omukyala Zari Hassan agumizza abawagizi be nti Omutonzi asobodde okuyamba era mu kiseera kino awulira bulungiko.
Sabiti eno ku lunnaku Olwokusatu, ekifaananyi kyafulumizibwa nga Zari ali ku ndiri, nga mulwadde kyokka yalemwa okutegeeza abagoberezi be ku mikutu gya ‘social media’ ekituufu ekimuluma era abamu kwekutegeeza nti kirabika yafunye olubuto.
Wabula Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebazza Omutonzi obulamu bwamuwadde era ategezeza nti awulira bulungiko mu kiseera kino, “Every morning we wake up is the first day of the rest of our life. Thank You Lord for LIFE? Feeling better“.