ANTI ENKWE! Wuuno mbega wa Pulezidenti Museveni mu kisinde kya People Power, Dr Besigye alabudde Bobi Wine okumugoba, yiino ‘Audio’

©GALAXY

Kyaddaki Dr Kizza Besigye avuddemu okwasi ku bigambibwa nti ye ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni tewali njawulo era mbu bonna bebamu. Besigye agamba nti bannayuganda balina okulabira ku bikolwa by’abantu bonna abali mu byobufuzi okwekeneenya abakolera Pulezidenti Museveni ku ludda ku oluvuganya Gavumenti. Bw’abadde ku laadiyo emu mu bitundu bye Jinja, Dr Besigye agambye nti […]


Kyaddaki Dr Kizza Besigye avuddemu okwasi ku bigambibwa nti ye ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni tewali njawulo era mbu bonna bebamu.
Besigye agamba nti bannayuganda balina okulabira ku bikolwa by’abantu bonna abali mu byobufuzi okwekeneenya abakolera Pulezidenti Museveni ku ludda ku oluvuganya Gavumenti.

Dr Abde Bwanika
Dr Abde Bwanika

Bw’abadde ku laadiyo emu mu bitundu bye Jinja, Dr Besigye agambye nti Dr Abde Bwanika owa People’s Development Party (PDP) y’omu ku bakolera Museveni kuba ne mukulonda kwa 2011 y’omu ku bannayuganda abasooka e Kololo, mukulu Museveni bwe yali addamu okulayira ng’omukulembeze w’eggwanga lino.
Ebigambo bya Besigye, kabonero akalaga nti Dr Bwanika mbega mu kisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Eddoboozi lya Besigye