Oludda oluwaabi mu musango oguvunaanibwa omuyizi ku YMCA Brian Isiko, luggyeyo okusaba kwerwakola mu kkooti enkulu mu Kampala. Isiko ali ku misango gy’okusindiika amaloboozi n’obugambo nga yeepikira omubaka we Kabarole Sylivia Rwabwogo 42 ng’amusuubiza okumulambuza ensi y’omukwano n’okumwerabiza abasajja abalala. Omusango ogwo gwasindikibwa mu kkooti enkulu omulamuzi ku luguudo Buganda Stella Amabirisi mu maaso g’omulamuzi […]
Oludda oluwaabi mu musango oguvunaanibwa omuyizi ku YMCA Brian Isiko, luggyeyo okusaba kwerwakola mu kkooti enkulu mu Kampala.
Isiko ali ku misango gy’okusindiika amaloboozi n’obugambo nga yeepikira omubaka we Kabarole Sylivia Rwabwogo 42 ng’amusuubiza okumulambuza ensi y’omukwano n’okumwerabiza abasajja abalala.
Omusango ogwo gwasindikibwa mu kkooti enkulu omulamuzi ku luguudo Buganda Stella Amabirisi mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo, okuwa ensala ye ku ky’okusaba kw’oludda oluwaabi okuleeta obujjulizi obupya, bannamateeka ba Isiko nga bakulembeddwamu Ramathan Waiswa kyebawakanya.

Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nelly Asiku bapondoose era bakiriza ky’okuggyayo okusaba kwabwe.
Munnamateeka wa Isiko, Waiswa agambye nti omusango gwo gwongedde okutyoboola eddembe ly’omuntu we omuli okumulemesa okutambuza obulungi emisomo gye n’okumulemesa okufuna abawala abayinza okumwegwanyiza.
Omulamuzi alangiridde nga 25, March, 2019 okuwa ensala ye.
Kinnajjukirwa nti Isiko omusango gw’okusaba Rwabwogo akaboozi, gwasooka ne gumukka mu vvi bwe yasibwa emyaka ebiri naye najulira mu Kkooti Enkulu ng’agamba nti omulamuzi yeekyusa n’amusingisa omusango gwe yali yegaanyi.
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Jane Frances Abodo yamuggyako ekibonerezo n’alagira kkooti ya Buganda Road okuddamu okuwulira omusango gwo wabula n’agamba nti abajulizi abaali bawadde obujulizi mu kusooka, kkooti b’erina okuddamu okuwulira n’okusinzirako bokka, ekyawaliriza oludda oluwaabi okuduukira mu kkooti enkulu, bakirizibwe baleete obujjulizi obulala.
Nga Isiko tannasibwa omubaka Rwabwogo ye yali yaakawa obujulizi yekka era omusango bwe guddamu okuwulirwa, omubaka Rwabwogo waddamu okulumiriza Isiko ng’asinzira kwebyo by’alina mu ssimu ye ku namba ya WhatsApp.