ENTIISA! Abaana 2 battiddwa mu bukambwe, omutwe, ebyenda n’ebitundu eby’ekyama bitwaliddwa, abasajja 2 bakwattiddwa

©GALAXY

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kagala-Gayaza mu disitulikiti y’e Mpiga, abaana babiri basangiddwa battibwa mu bukambwe. Abaana okuli Nicolas Muyingo myaka 10 ne muganda we Peace Nalweyiso 12, babula mu ngeri etaategerekeka nga 10, March, 2019, nga basindikiddwa jjajja waabwe Rosemary Nakintu mu katawuni k’e Nkozi, okukima amazzi ku ssaawa nga 12 ez’olweggulo. Ebiwuduwudu byaabwe, bisangiddwa […]


Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kagala-Gayaza mu disitulikiti y’e Mpiga, abaana babiri basangiddwa battibwa mu bukambwe.

Abaana okuli Nicolas Muyingo myaka 10 ne muganda we Peace Nalweyiso 12, babula mu ngeri etaategerekeka nga 10, March, 2019, nga basindikiddwa jjajja waabwe Rosemary Nakintu mu katawuni k’e Nkozi, okukima amazzi ku ssaawa nga 12 ez’olweggulo.

Ebiwuduwudu byaabwe, bisangiddwa mu nsiko abasajja babiri (2) ababadde bageenze mu nsiko okutyaba enku era okubyekebejja, kizuuliddwa nti baasalibwako ebitundu by’omubiri ebyenjawulo omuli emitwe, amagulu, omuwala yasalibwako ebitundu eby’ekyama byonna mu nkola ey’okusaddaakibwa ate omulenzi yenna baamutematema.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga Phillip Mukasa, bakutte abantu babiri (2) okuli Jackson Arinimana ne Remegiyo Muwonge bayambeko Poliisi mu kunoonyereza okukyagenda mu maaso.

Eddoboozi lya Mukasa