Omuyimbi Rema Namakula, Weasel Manizo ne munnakatemba okuva mu ggwanga erya Kenya Eric Omondi bakutudde ddiiru ne Alex Muhangi owa Comedy Store ya bukadde bwa ssente. Okusinzira ku ntekateeka, Comedy Store atwaliddwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli Mbarara ne Masaka ku wikendi eno era Rema ne banne, balondeddwa okulemberamu okusanyusa abadigize. Ku Lwomukaaga nga 23, […]
Omuyimbi Rema Namakula, Weasel Manizo ne munnakatemba okuva mu ggwanga erya Kenya Eric Omondi bakutudde ddiiru ne Alex Muhangi owa Comedy Store ya bukadde bwa ssente.
Okusinzira ku ntekateeka, Comedy Store atwaliddwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli Mbarara ne Masaka ku wikendi eno era Rema ne banne, balondeddwa okulemberamu okusanyusa abadigize.
Ku Lwomukaaga nga 23, March, 2019, Comedy Store etwaliddwa Mbarara ku Hotel Triangle ate ku Ssande nga 24, March, ku Rugby Grounds e Masaka.
Omuyimbi Rema ne Weasel kugattiddwako bannakatemba abalala MC Mariachi, MC Kapale, Madrat ne Chiko, Kelekele, Kalela, Dr T-amale, Jajja Bruce, Kabaata.

Abalala kuliko Mighty Family, Crazy University, Maulana ne Reign, Snake ne Zolo, Bobby Brown ne Nilo Nilo.
Okusinzira ku Dayirekita wa Comedy Store Muhangi, okutwala Katemba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo kikoleddwa okwongera okutunda katemba mu ggwanga ne bannakatemba okwongera okumanyika.
Kimanyiddwa mu Kampala, buli Lwakuna ku UMA e Lugogo, Comedy Store, ky’ekivvulu ekimalako bannayuganda ebirowoozo.